Episodes
Lukenge yefudde wakayima anti yategeerera Pawulo ate yategeerera ne TN. Olowooza Pawulo agenda kukola atya?
Published 05/10/24
Published 05/10/24
Abo bolowooza nti bakwano bo bakwogerako ki eyo era bakwagaliza ki? Lukenge nfa nfe wa Pawulo teyalwa kumwefuulira.
Published 05/06/24
Pawulo yamalira eyali agenze mulumbe ate yamalira mu mbuga ya kika. Omusango, kwookya nsiisira? Yeyaguzza? Tuwulirize tulabe.
Published 05/04/24
Nkokonjeru anti yeeyoleka mangu. Omuwandiisi atulaga Pawulo engeri gyeyali atereddemu, buli muntu eyali amumanyi naddala abo abomukyalo bamusimbamu oluseke.
Published 05/02/24
Pawulo agwa ku lubabu lwabazadde ba Nambalirwa anti tebaali basanyufu okuzuula nti Pawulo yali asobezza muwala wabwe.
Published 05/01/24
Pawulo ngamaze okunoonya emirimu negibula yasalawo asomese ku ssomero lya Sekondale. Eyo gyeyasanga akawala ka Nnambalirwa era nakatikka erya'Mugema.
Published 04/17/24
Pawulo nga akomyeewo atandika okunoonya ku mirimu naye akigwako okwesanga nti buli weyasaba, omulimu tebamuwa, kuba teyatoola nguzi.
Published 04/16/24
Pawulo aluka olukwe olumuyamba okusobola okuva e Bungereza, addeyo alabe ku bekika nabenganda, awamu nokutandika okukolera ku boobwe.
Published 04/12/24
Emisomo Paulo yagikuba budinda, era ku lunaku lwokuttikirwa yafuna omukisa okwogera eri abayizi, beyasobola okusomesa ku b'Afirika nengeri abazungu gyebalina okulekera okukyuusa obuwangwa bwabwe. Awo ku nkomerero yekitundu kino, yafuna ekyewuunyo okuva eri omuwala Flora.
Published 04/09/24
Paulo nga atuuse e Bungereza yayiga mangu nnyo embeera zaayo era yakola n'emikwano egyamutwala mu binyumu mpozzi olumu n'okumenya ku mateeka ga Kolegi mu bwegendereza.
Published 04/06/24
Paulo atuuse okusiibula agende e Buzungu asome. Atandikira wa Ssenga era Ssenga'we ayita ekyalo kyonna kimusibirire entanda.
Published 04/04/24
Omuwandiisi asumulula emboozi nga atunyumiza ebikwata ku mulenzi Pawulo eyali omuvubuka embula kalevu, omulungi era omusomi kungwa. Atulaga amaziika ge agennaku anti yasangibwa yetuze.
Published 04/02/24
Omuvubuka omuto omugagga ate ey'asoma nakamala, nga alina n'omulimu ogumuwa lupiiya ate lwaki yeetuga? Tuula tusoosotole Pawulo Kirimuttu.
Published 03/31/24
Bonna Baasumagira? Ye kituufu bonna baasumagira. Kubanga ssinga Kate teyasumagira nasoma namaliriza emisomo gye, yandibadde alinga banne abaasoma, Ne John singa yali tayonoonye nsimbi ze mubakazi osanga yandibadde mugagga.
Published 03/28/24
Kate yayagala okulaga John nga bwali ow'ekitalo ennyo. Yasalawo n'agenda mu baala ne Peter nga amanyi bulungi nti John naye ajja kuyitirayo.
Published 03/26/24
Ennaku z'omubbi ziba ana. Era olunaku mulindwa lwatuuka, Feibe nagwa ku John and bali ne Kate. Olutalo olwasikuuka awo Moses, neiba wa John yeyataasa.
Published 03/23/24
Feibe akabaluwa akaali kavudde ewa Kate akagwaako mu kkooti. John agezaako okumulimbalimba naye amanyi amazima nti wateekwa okubeera nga John alinayo omuwala omulala.
Published 03/21/24
Feibe atandika okulowooza nti John alinayo abakyaala abalala. Era ategeeza John nti ye tajja kubeera awo kugattibwa nabakazi balala nga asobola okwenoonyeza omusajja omulala.
Published 03/19/24
John ekiseera kyatuuka nga okukyanga abakyala ababiri kitandise okumuzitoowerera, Era kyali kyeraga bulungi olwobufunda bwensawo obwaali bweyolese.
Published 03/16/24
Kate teyalinda John kumuyiwa nga yeefuniddeyo dda omulenzi omulala Peter. Ate ono yali alinamu ku kasente nobuyigirize okusinga mwana mulenzi John
Published 03/14/24
Obuyaaye, obubbi n'obukuluppya bwa mwana mulenzi John tutandika okubulaba mu kintu kino.
Published 03/12/24
Kate yasalawo atoloke ewa Kojja we era omulenzi we yamupangisiza omuzigo eyo e Naggulu. Yatuuka nokwekweeka kitaawe nga azze okumunoonya.
Published 03/09/24
Kate omukwano gwali gutandikidde ddala okumusaza mu kabu ne John era nga newa Kojja we alaba takyajaayo.
Published 03/07/24
Kate waliwo omulenzi amutawaanya era amwagazza nokuva kukusoma agende abeere eyo naye. Yadde Getu alowooza okusoma kukyaali kwamugaso eri Kate, ye asuubira nti omwami ajja kusobola okumuwa buli kyagala, anti mugagga.
Published 03/05/24